VegaRadio

Abalamuzi bagamba enkaayana ku by’obusika biva ku butaagala kukola biraamo

Abalamuzi bagamba enkaayana ku by’obusika biva ku butaagala kukola biraamo

Abakulu mu kitongole ekiramuzi bagamba nti omuze gw’abantu obutaagala kuwandiika biraamo,kko n’obutamanya mpandiika ntuufu by’ebimu ku biviiriddeko okweyongera kw’enkayana mu b’eng’anda naddala nga bassemaka bafudde.Bano bagamba nti okusinziira ku byebazze balaba,ekisinga okutondawo oluwunko kuba kulemwa kukkaanya mu ngabana y’ebyobugagga by’abagenzi.Kati bano baagala enkola ey’okutegeragana oba Alternative Dispute Resolution etandike okweyambisibwa okumalawo emisango egy’etuumye.

Source: NTV Uganda

Vega RadioTap play to listen live