OKUTAMBUZA EDDAGALA: Gav’t yeenyumiriza mu nteekateeka y’okukozesa ‘drone’
Minisitule y’ebyobulamu kati ekuba bulatti oluvannyuma lw’okutuukiriza enteekateeka y’okutambuza omusaayi ne ddagala okugenda mu bitundu ebikaluubirizibwa mu byentambula nga beeyambisa entambula y’omubwengula.Mu nteekateeka eno, drone ezeefanaanyiriza ennyonyi zitongozeddwa okutandika okuyambako mu nteekateeka eno.Zino zitambulira eddakiika 40 zokka okuva e Kampala okutuuka ku bizinga.
Source: NTV Uganda