OLUKUŋAANA LW’ABAWALA: Katikkiro agamba mwewale basajja nga mukyasoma
Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abawala ku kabaate akali mu kuganza abasajja nga bakyasoma,kyagamba nti ky’ekisinze okudobonkanya ebiseera byabwe eby’omumaaso.Katikkiro agambye nti kizuuse nga abaana abawala bangi tebeekomako nga bali mu masomero,nebeetaba mu bikolwa by’ekifumbo ebibajja ku mulamwa okukakana nga emisomo gyidobonkanye.Okwogera bino abadde mu ttabamiruka w’abaana abawala nga ono y’asookedde ddala mu Buganda.
Source: NTV Uganda