OMUYIZI EYAKABASANYIZIBWA: Yeekubidde enduulu ku musomesa amufuukidde ekizibu
Waliwo omuyizi w’ekibiina ky’omusanvu ku ssomero erimu erya Pulayimale e Rakai alumiriza omusomesa okumukolako ebyambyone nga kati alemereddwa okudda ku ssomero olw’okutya ebiyinza okuddirira nate oluvannyuma lw’ono okumutiisatiisa okumujja mu bulamu bwensi singa amala n’amulonkoma.Omuyizi ono ngalindiridde kukola bigezo bye ebyakamalirizo agamba yakasoma ennaku ssatu zokka ku lusoma luno. Wabula Poliisi ekakasizza ng’omusomesa omuyizi gwalumiriza…
Source: NTV Uganda